Ebyemizannyo

Empaka z’ebika zitongozebwa leero

Empaka z’ebika zitongozebwa leero

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

File photo: Kabaka nga gaaba ekikoopo

File photo: Kabaka nga gaaba ekikoopo

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakutongoza empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda.

empaka zino zakuggulwamu mu butongole Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 nga 26 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkobe littunka ne Ngabi.

Mayiga agambye nti ebika yentabiro y’okwegatta wamu n’okutumbula ennono mu Buganda kale nga Abaganda balina okuzetanira.

Mungeri yemu Mayiga era wakusisinkana amagombolola okuva e Buddu Bukkakata,Lwabenge ne Kibingo mu nkola eya Luwalo lwaffe.