Ebyemizannyo
FUFA ekungubagidde owa IvoryCoast
Bya Ali Mivule
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA kyegasse ku bantu abenjawulo okukugubagira abadde omuzanyi w’eggwanga lya Ivory Coast Ismael Cheick Tiote .
Tiote y’atondose n’afa bweyabadde mu kutendekebwa ne ttiimu ye eya Beijing Enterprises FC mu ggwanga lya China.
Kati akulira FUFA Moses Magogo omugenzi amumenye nga omusambi w’omupiira abadde yewwayo okukola obulungi omulimu gwe era Africa efiiriddwa nyo omuzanyi ow’ekiwago.
Waabaddewo akaseera k’okusirika ku mupiira gw’omukwano wakati wa Senegal ne Cranes ogwazanyiddwa leero okujjukira omwoyo gw’omugenzi.
Tiote yasambirako kiraabu ya Newcastle mu ggwanga lya Bungereza.