Ebyemizannyo
Hossam Hassan aggya
Bya Ali Mivule
Eyaliko emunyenye ya Rgypt mu kucanga akapiira Hossam Hassan asuubirwa mu ggwanga essaawa yonna okuva kati.
Hassan nga kati atendeka kiraabu ya Al –Masry ali n’ekibinja ky’abazanyi be abasuubirwa okuzanya KCCA FC mu mpaka za CAF Confederations Cup.
Omwogezi wa KCCA Clive Kyazze agamba abazanyi bano basuubirwa olwaleero nga era bakusuzibwa ku woteeri ya Sheraton.
KCCA yakwambalagana ne El Masry ku lwomukaago luno mu kisaawe kya Phillip Onondi e Lugogo oluvanyuma baddingane nga 15 Aprul ku Port Said mu Misiri.
KCCA yawandulwa mu mpaka za CAF champions League nedda mu za CAF Confederatins Cup nfa awangula ku bano ababiri yesogga ez’ebibinja.