Ebyemizannyo

Kapiteeni wa Cranes omuggya

Ali Mivule

April 4th, 2017

No comments

Omukwasi wa goolo ya Uganda  Dennis Onyango ye kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga the Cranes omuggya.

Onyango asikidde  Geoffrey Massa eyawumudde ogw’eggwanga oluvanyuma lw’emyaka 12 nga awereza.

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic akakasizza kino n’ategeeza nga Onyango bw’alina obumanyirivu okukulembera bulungi banne.

 

Mukiseera kino Onyango ali ne kiraabu ye eye South Africa eya  Mamelodi Sundowns nga era wakukulemberamu Uganda mu mpaka zokusunsula abanetaba mu z’ensi yonna eza 2018 wamu n’eza Africa eza 2019.

 

Omulangira Hassan Wasswa Mawanda yemumyuka wa Onyango.