Ebyemizannyo

Kawempe Muslim S.S bebakyampiyoni

Ali Mivule

June 5th, 2017

No comments

 

Bya Ali Mivule

Aba Kawempe Muslim SS beddiza ekikopo kya liigi  y’abakyala omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa oluvanyuma lw’okukuba aba UCU Lady Cardinals 4-0 ku kisaawe kye Wankulukuku.

Juliet Nalukenge y’ateebye goolo 2 olwo  Sharon Naddunga ne  Favour Nambatya nebateeba endala.

Aba Uganda Martyrs’ High School Lubaga  beebakutte ekyokusatu oluvanyuma lw’okukuba  Olila High School 3-2 mu penati oluvanyuma lw’okugwa amaliri 1-1.

Hasifa Nassuna owa Kawempe Muslim yeyasinze banne okuteeba goolo enyingi nga zaabadde 26.