Ebyemizannyo
KCCA eyongedde okugula abazannyi
Aba tiimu ya KCCA FC bakyagenda mu maaso n’okugula abazannyi okwongera okunyweeza tiimu
Kati aba KCCA basemberedde okuddamu okugula eyali muyizi tasubwa waabwe Herman Wasswa.
Wasswa yoomu ku baava mu tiimu eno mu gw’omukaaga gw’omwaka oguwedde
Ssinga Wasswa addamu okwegatta ku KCCA, wakukwatagana buto n’omutendesi Mike Mutebi ng’ono yoomu yamutendeka ko ng’ali mu Villa mu mwaka gwa 2011.
Bano bazooka kugula Ceasar Okuti okuva mu Express FC nga nagaala n’abalala okuli Douglas Kisembo ne Rahmat Ssenfuka.