Ebyemizannyo
Minister yeeganye obukuubagano mu bitongole ebikuuma dembe.
Bya Ssamuel ssebuliba.
Government ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo okusika omuguwa wakati w’ebiwayi ebikola ku by’okwerinda nadala bwekituuka kumutendera ogw’okukola ebikwekweto , kko n’okunonyereza kubuzzi bw’emisango.
Gyebuvudeko amawullire gaze gakiraga nga bwewaliwo obutakaanya wakati wa ISO, Police ne CMI, era nga buli omu abaddde ayingirira emirimo gyamunne.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire , Frank Tumwebaze nga ono ye minister akola ku by’amawulire agambye nti ebitongole ebikuuma dembe byonna birina akakiiko aka National Security Council mwebyegatira era mwebimalira ensonga zaabyo, kale nga obutakaanya tebuyinza kusuka wano.
Kati ono agambye nti eby’obutakaanya bigambo byabanamawulire simazima