Ebyemizannyo
Mujib Kasule ali ku ssaala
Bya Ali Mivule
Akakaiiko ka FUFA akakola ku by’okulonda kakutuula olunaku lwaleero okusalawo ku nsonga z’ayagala okwesimbawo ku kifo ky’akulira FUFA Mujib Kasule ataasunsulibwa ku lwokutaano oluwedde.
Ssentebe w’akakiiko kano Samuel Bakiika agamba Mujiba alina ebibulako bingi nga emikono gy’abaamusemba, obufaananyi n’ebirala ebibulamu.
Ye Mujiba agamba ebyakyusibwa byali bingi ate obudde nebamuwa butono okuleeta buli kyetagisa .
Wabula ategezezza nga bw’ajja okugondera ebinaava mu kakiiko kano ssinga banaaba bagoberedde amateeka.
Mujib yeyekka eyesowolayo okuvuganya akulira ekibiina ky’omupiira ekya FUFA Moses Magogo yadde nga bangi baali basuubira Lawrence Mulindwa atazze.
Okulonda kakubeerawo mu mwezi gwa August