Ebyemizannyo
Omuserikale awangudde omusipi mumpaka z’ebikonde.
Bya Samuel Ssebuliba.
Waliwo omuserikale wa polisi ali kudaala elya Special Police Constable Ronald Odoch awangudde omusipi ogwa World Heavy Kick Boxing Championship mumpaka eza World Kickboxing Federation International Champion Title ezibadde mu gwanga lya Hungary.
Odoch awuttudde munansi wa Romania Radu Mihai Gabriel , nga ono amukubidde mu luzanya lwakuna , era nga okumumegga amukubye ekkonde tonziriranga.
Ono abade azanyira mubuzito bwa Kilo 69.5, nga muno abademu n’abalala okuva mu Austria, Bosnia, Romania, Lithuania ne England.
Bwabadde amwanjula eri banamawulire, akulira eby’emizanyo mu polisi ye gwanga AIGP Andrew Sorowen asiimye Odoch olw’okuweesa uganda ekitiibwa