Ebyemizannyo
She Cranes etuuse- bagiwangudde mu mukwano
Tiimu y’eggwanga ey’omuzanyo gw’okubaka eya She Cranes yatuuse bulungi mu ggwanga lya Australia akawungeezi k’eggulo,gyeyagenze okwetegekera empaka z’ekikopo kyensi yonna eza Netball World cup mu kibuga Sydney.
She Cranes kati nga esuzibwa ku Hotel ya Ibis esobodde okuzanyayo omupiira ogw’omukwano n’eggwanga lya New Zealand enkya ya leero era ewutudwa kubugoba 67-46.
Uganda yakuggulawa ne Zambia mu kibinja D ku lwokutaano lwa wiiki eno ku ssaawa kkumi na bbiri n’eddakiika 50 ez’okumakya.
Empaka zino zitandika ku lwokutaano nga 7th okutuuka nga 16th omwezi guno.
Amawanga16 geegagenda okwetaba mu mpaka zino ezitegekeddwa Australia era guno gwe mulundi gwa Uganda ogw’okubiri okwetaba mu mpaka zino okuviira ddala mu mwaka gwa 1979.