Ebyemizannyo

She Cranes ewanduse mu z’ensi yonna

She Cranes ewanduse mu z’ensi yonna

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

File Photo: Tiimu ye Gwanga eyo kubaka

File Photo: Tiimu ye Gwanga eyo kubaka

Tiimu ya Uganda ey’okubaka the she Cranes ewanduse mu mpaka z’ensi yonna ez’okubaka eziyindira mu ggwanga lya Australia.

Uganda ekubiddwa Jamaica ku goolo  59-47 nga ne Malawi yabakuba mu luzanya olwasooka mu zisooka eziddirira ezakamalirizo.

Rachael Nanyonga asuuse goolo  29  sso nga kaputeeni  Peace Proscovia ateebye 18 .

Uganda kati yakuzanya  New Zealand mu muzanyo ogusembayo nga tekyalina kigendererwa.