Ebyemizannyo
Tiimu ya vipers yakwambalagana ne bright stars leero.
Bya Samuel Ssebuliba.
Nga tiimu ya Vipers Sports Club yeetegekera okwetaba mu mpaka za Azam Uganda Premier League leero, tutegeezedwa nga team bwefunyeemu edibu nga kino kidiridde okukimanyaako nti omu kubazanyi baayo.
Moses Waiswa tagenda kubeera ku tiimu egenda okw’ebiriga ne Bright Stars mumupiira egugenda okubeera ku kisaawe e Mwererwe.
Omutendesi wa team eno Jorge Miguel Da Costa agamba nti Wasswa abadde tatendeka na tiimu eno okumala enaku satu, kale nga ku tiimu eno tasobola kubaako.
Nga ogy’eko Wasswa n’omuzanyi Duncan Sseninde naye ayinza obatalabika mukisaawe kubanga alina obuvune mukugulu.
Kinajukirwa nt team eno yeyongera okwenyweza bweyagula abazanyi abalala okuli Tadeo Lwanga, Baden Mujahid, Mousa Mbayi, Tom Masiko, Steven Mukwala, Yayo Lutimba ne musaayi muto Ashraf Bamuturaki.