Ebyemizannyo
Tiketi za Cranes
Tickets zomupiira gwa Uganda Cranes ne Liberia zakutandika okutundibwa olunaku lwenkya kumakya.
Tickets zino zakutundibwa nusu 12,000 wamu ne 33,000.
Tickets zino zakutundibwa kumasundiro gamafuta aga Shell,Total,Kobil,City Oil ne Gapco.
Awalala kwekuli Hardware world e Ntinda,City shoppers e Mukono ne Basebuguzi and sons e Masaka.
Okusinziira kumwogezi wa Fufa ,Rogers Mulindwa ategezezza nga tewali Tickets zigenda kutundibwa kukisaawe era nalabula nabawagizi okugula tickets zino mubifo ebyo byokka Fufa byetadewo nomuwendo ogulambikidwa.
Mukiseera kyekimu,tiimu ya Liberia etuuse nga yeetegekera omupiira gwokulwomukaaga e’Namboole mumpaka zokusunsulamu abanetaba mu za world cup omwaka ogujja.