Ebyemizannyo
Uganda Cranes ekyalimu essuubi
Yadde nga Uganda cranes yawanduddwa mu mpaka za Chan, abamanyi eby’omupiira bagamba nti tiimu eno yakoze nnyo
Eyaliko omutendesi, Mike Mutebia gamba nti empaka zino zisinze kuyamba bazannyi bato kufuna obukugu
Ono agamba nti bano basobola bulungi okuwawulwa nebazannya bulungi gyebujja ng’abantu tebasaanye kuggwaamu ssuubi
Asabye ekibiina kya FUFA okufuba okunyweeza tiimu naddala mu mpaka za Africa ezigenda okubeera e Morroco omwaka ogujja
Uganda cranes olunaku lwajjo ywanduddwa oluvanyuma lw’okukubwa morocco goolo 3 ku 1