Ebyemizannyo
Uganda esenvudde mu ngereka
Omupiira gwa Uganda gwongedde okulinya mu nsengeka z’ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna.
Uganda kati ekwata kya 62 mu nsi yonna nga esenvudde ekifo kimu okuva mu kye 63 omwezi oguwedde.
Kino kyekifo kyawaggulu Uganda kyeyali etuuseko nga mu Africa eri ekwata kya 12 sso nga mu mawanga ga East Africa mpaawo abawunyamu.