Ebyemizannyo
Walusimbi ssi wakusamba
Omutendesi wa tiimu y’eggwanga Micho Mulitin akakasizza nga omuzannyi Godfrey Walusimbi bw’atagenda kukomawo waka kwetaba mu mupiira gw’olwomukaaga.
Walusimbi ono alemereddwa okukwatagana ne tiimu gy’asambira mu Congo
Kati Alex Kakuba ne Joseph Ochaya bebasigaddewo okuzannya mu namba ye mu mupiira wakati wa Uganda cranes ne Liberia
Abaala abatagenda kubaawo kuliko omukwaasi wa goolo Denis Onyango ng’ano alina kaaadi za kyenvu bbiri
Kino kitegeeza nti kati tiimu eno yakulonda ku Robert Ondongokara, Ali Kimera, oba Hamza Muwonge kyokka nga bel Dhaira buli omu kw’atadde amaaso.