Ebyobulamu
Ow’emyaka 3 ameze amabeera asobola okuwona
Omwana ow’emyaka 3 eyameze amabeere n’okugenda mu nsonga yamazeeko buli omu ebyewangula.
Omwana ono nga bakadde be babeera Lwengo alina buli mbeera abakulu gyebayitamu era abantu bamufudde kyakwolerera
Ebireeta embeera eno bingi naye ekirungi nti ewona
Omusawo omukugu mu nsonga z’abaana Dr. Jessica Nsugwa agamba nti ssinga abasawo bazuula awavudde obuzibu , kisobola okukolebwaako.
Dr Nsugwa agamba nti omwana ono yeetaga bakugu
Agenda mu maaso n’ategeeza nti embeera eno tetera kubaawo kyokka ng’esinga kulumba bawala ate okusinga ku balenzi