Ebyobulamu

Sukaali anafuya abasajja

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

sugars and men

Bulijjo abasawo bagamba nga  sukaali omungi bwaali owobulabe eri omubiri gwomuntu .

Olwaleero abasawo era bazzeemu okukikatiriza wabula abantu abasinga bakyaaganye.

Abakugu bagamba nti sukaali akyankalanya obwongo bw’abantu abamu n’okumalamu amaanyi naddala mu basajja.

Abantu abasinga balowooza sukaali bwebuweke obuteekebwa mu kyaayi, wabula ssi bwekiri, sukaali asangibwa mu    bintu bingi omuli omubisi gwenjuki, ebibala n’ebyokulya ebirala bingi.

Abasawo bagamba sukaali alinyisa ekirungo kya insulin mu mubiri ekyobulabe eri ekibumba kyomuntu.