Ebyobulamu
Tewali bitanda
Amalwaliro gonna mu ggwanga galina obuzibu bw’obutaba na bitanda
Ministry ekola ku byobulamu egamba nti yeetaga obuwumbi 22 nga zino zakugula bitanda na mifaliso
Minister omubeezi akola ku byobulamu, Dr Ellioda Tumwesigye agamba nga bafunye ensimbi zino omugotteko gujja kukendeerako mu malwaliro
Ensonga eno ereeteddwa ababaka Betty Amongi ne Kenneth Omona abalaze obwenyamivu olw’embeera y’amalwaliro embi ennyo naddala mu bulwaliro bw health center 3 ne 4