Ebyobulamu
Aba Kafuba bakulondoolwa
Ministry yebyobulamu etandise okulondoola abalwadde bakafuba bonna muggwanga.
Kino kigendereddwamu okukugira abantu bano okusaasanya obulwadde buno eri abalala.
Omukugu ku kirwadde kino mu ministry yebyobulamu Dr. Isa Makumbi agamba bagezako okukola kino okusobola okukendeeza ku kafuba kano akeegiriisiza mu bantu abataagala kumira dagala.
Makumbi agamba balina e namba zamasimu agabalwadde bakafuba bonna era nga gebagenda okukozesa okubalonfdoola.
Bwiino aliwo okuva mu ministry yebyobulamu alaga nga bana’uganda abasoba mu 500,000 bwebafuna ekirwadde kyakafuba buli mwaaka.
Akafuba kava ku buwuka bwa bacteria nga businga kutambulira mumpewo, era nga kasiigibwa singa omuntu akalina akolola, awanda awantu oba okusiza okumpi naabo abatamulina.
Akafuba era kawaata naabo abanywa amata agatali mafumbe okuva munte enddwadde.