Ebyobulamu
Aba Kkolera 53 basiibuddwa
Abantu abalina obulwadde bwa cholera abawerea ddala 49 beebakyaali mu ddwaliro nga bajjanjabibwa
Kino kikakasiddwa kamisona akola ku byobulamu mu bitundu ebitali bimu Dr Anthony Mbonye
Dr Mbonye agamba nti minisitule y’ebyobulamu efubye okulaba nti obulwadde buno tebwongera kubuna era nga tewanabaawo muntu mulala afa
Bbo abantu 53 nabo basiibuddwa oluvanyuma lw’okukakas anti bawonye
Wabula Dr Mbonye agamba nti bakusigala mu kitundu kino okulaba nti ekirwadde kino tekiddamu kwetaaya
Obulwadde bwa kkolera bwatta abantu 4 nga bwakabalukawo