Ebyobulamu

Aba mexico beebasingamu ba ssemudigu

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Obese family

Eggwanga lya America kyaddaaki lifunye alirivvula mu kubeera n’abantu abanene.

Eggwanga lya Mexico kati lyelisingamu abantu abanene mu nsi yonna.

Alipoota enoe koleddwa ekibiina ky’ensi yonn ekikola ku by’emmere.

Aba mexico abawerera ddala ebitundu 32 ku buli kimu beebanene ennyo  okwawukanako ne America eri ku bitundu 31 ku kikumi.

Ekyewunyisa nti ate bbo aba mexico bano ekibagezza kulya bubi ng’abasinga balya mmere ebulamu ebirungo ebimu

Obulwadde bw’omugejjo bungi nnyo mu mawanga agaakula edda era ng’abafa buli lunak beeyongera

Kino kiva ku bulamu bwebalimu obutaliimu birowoozo na kukola exercise ate nga tebawummuza mimwa