Ebyobulamu
Abaafudde e Kabalole teyabadde Ebola
Sampo ezajiddwa ku bantu 2 abaateberezeddwa okubeera nekirwadde kya Ebola abaafudde mu district ye Kabarole ebivudde mu kwkebejja biraze nti ssi bwaladde.
Kino kikaksiddwa Atwal byobulamu mu district ye Kabarole Dr Richard Mugahi.
Ategezezza nti, sampo zino ezibadde zaatwalibwa ku kebejjezo Entebbe erya Uganda virus research institute tezazuliddwa kauwka ka Ebola.
Abantu bano baazikidwa ku Bbalaza nga tebakirizibwa naba nganda zaabwe okubakwatako.
Omu ku bano ye Kalisia Benado, owemyaka 65 omutuuze we Busaru mu district ye Bundibugyo yafiira mu ddwaliro lye Fort Portal.
Kati abatwala ebyobulamu basabye abantui beeno okubeer abakakamu, nga bwebakola okunonyererza okuzula kino kirwadde ki.