Ebyobulamu
Abaali basomera e Makerere bazze mu bulamu
Abaali basomeddeko ku ttendekero ekkulu e Makerere batunuulidde eddwaliro lya kkookolo nga pulojekiti kati gyebaagala okusondera ensimbi.
Omu ku bakulira abaasomerako ku ttendekero lino Deus Kamunyu Muhwezi, agamba oluvanyuma lw’okusonda nebazimba ekisenge okwetolola ettendekero lino, kati baagala kuyamba ku kuddabirizibwa kw’eddwliro lya kkookolo okutaasa bannayuganda.
Muhwezi agamba bateekateeka kugula bikozesebwa ebipya, ssaako n’okukubiriza abamu ku baali abayizi b’e Makerere okukolerayo.