Ebyobulamu
Abaana abafa e Iganga bangi
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero bagenze mu maaso n’okulambula amalwaliro ng’olwaleero bagenze Iganga
Ekigendererwa mu kino kumanya bya bulamu nga bwebiyimiridde n’engeri y’okuyambako
Kati omu ku babaka, Godfrey Kiwanda agamba nti ebyobulamu bikyetaaga ensimbi kubanga ebyuuma ebimu tebikola
Ono era agamba nti n’obwaavu bungi ng’abantu batuuka okugenda mu ddwaliro nga tebalina byetaagisa
Yye nno omukulu mu kibiina kino akola ku by’obulamu by’abaana Patrick Aliganyira agamba nti kawefube ono bagenda kumwongerayo okulaba nti abakyala bakendeera