Ebyobulamu
Abaana abafumbirwa nga bakyali bato bakendedde.
Bya Ssebuliba samuel.
Ekitongole kyensi yonna ekikola ku byabaana ekya UNICEF kitegeezeza nga abaana abafumbirwa nga bakyali bato bwebazze bakendeera munsi yonna nga ne uganda mw’ogitwalidde
Bano bagamba nti abaana abasoba mu bukadde 25 bebatangiddwa okufuna embuto, ko n’okufumbirwa mu myaka ekumi egyakayita .
Okunonyereza okuliwo kulaga nti kubuli baana bataano omu asanginwa nga afumbiddwa nga tanaweza myaka 18.
Bano bagamba nti semazinga esinze okulwanyisa kino ye South Asian, songa ne Afriaca egezezaako nadala Ethiopia