Ebyobulamu
abaana abamu bakeerewa okuvubuka
Bannasayansi bakizudde nti abaana abamu balwaawo okuvubuka ate balala nebakeera
Kigambibwa okuba nti kiva ku musaayi ng’abamu balina endagabutonde ezirwaaawo okulagira omubiri okukola enkyukakyuka ku mubiri ng’omwana avubuse
Abanonyereza okuva mu bungereza batunuulidde abaana okuva mu maka musanvu
Abaana abawala abasinga batandika okukyuuka emibiri nga balina emyaka 13 kyokka ng’abamu bakifuna bukyaali
Mu buli baana abalina emyaka gy’ekivubuka 100, 4 balwaawo okukyuuka emibiri egyerarilikiriza bakadde baabwe