Ebyobulamu
Abaana abassa enyo nga bali mu mbuto tebatera kukula
Abanonyereza bazudde nti kisoboka okutegeera nti omukyala wakuzaala omwana nga tannaba kwetuuka
Abasawo bagamba nti omwana yenna bw’aba assa nnyo ng’ali mu lubuto , taba bulungi era nga tasobola kunywerera munda
Mu ngeri yeemu era abaana abassa ennyo nga bali mu mbuto batera okubeera n’obuzibu ku mawuggwe gaabwe.
Abasawo bagamba nti ebizuuliddwa ab’essomero kya King’s College London byakubayamba okulaba engeri y’okuyambamu abakyala okuzaala abaana abatuuse