Ebyobulamu
abaana abatannatuuka- ensimbi zibulamu
Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa mu kukendeeza omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka
Omukugu mu nsonga z’okuzaala mu kibiina kya SAVE The Children Uganda Patrick Aliganyera agamba nti amalwaliro mangi tegalina byuuma bikola ku baana ba kika kino omuli ebikuza abaana ekibaviirako okufa
Aliganyera agamba nti n’abasawo abamanyi engeri y’okukwatamu abaana bano batono ddala nga bwebazaalibwa tebafiibwaako bulungi.
Bino abyogedde ng’eggwanga lyegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka ng’emikolo emikulu giri Kayunga.