Ebyobulamu
Abaana abazaalibwa n’ebituli mu mbuto beeyongedde
Omuwendo gw’abaana abazaalibwa nga balina ebituli mu mbuto zaabwe gwekubisizzamu emirundi ebiri okuva 1995.
Wabula abakugu mu by’obulamu bakayatakula mitwe okuzuula kiki ekivaako obulwadde buno.
Wano abasawo webalabulidde abakyala b’embuto okwewala okumira buli ddaggala lyebasanze kubanga kiteberezebwa okuba nti lyerivaako obulwadde buno.
Mu ggwanga ly’Amerika ku bukadde bw’abaana 13.2 abaazalibwa wakati wa 1995 ne 2005, 4,713 baalina ebituli mu mbuto zaabwe.