Ebyobulamu
Abaana abazaalibwa nga balina mukenenya bakendedde
Omuwendo gw’abaana abazaalwa nga balina akawuka ka mukenenya bakendedde
Ab’eddwaliro erijanjaba n’okubudabuuda abalina mukenenya ekya Mildmay bagamba nti buli mwezi abaana abazaalwa nga balina kawuka bali 14 bokka okwawukanako n’emabega bwebaali nga 40.
Akulira eddwaliro lino,Dr.Babara Mukasa kino akitadde ku nkola eziyiza ba maama okusiiga abaana baabwe obulwadde.
Ono agamba nti bafuba okukebera abakyala abali embuto nebatandikirawo okubawa obujjanjabi okulab anti tebasiiga baana baabwe