Ebyobulamu
Abaana abazalibwa n’obulwadde bw’emitima beeyongedde.
Bya Shamim Nateebwa.
Edwaliro erikola ku bulwadde bw’emitima elya Uganda heart institute litegeezeza nga omuwendo gw’abaana abazalibwa n’obulwadde buno bwegugenze gulinya buli kaddde.
Ebiwandiiko ebiriwo biraga nga abaana abawerera dala 15,000 bwebazalibwa n’obulwadde buno buli mwaka.
Dr.John Omangino akulira edwaliro lino agamba abaana 7,000 kubano bazalibwa nga beetaga obuyambi obwamangu.
Kati ono ayagala abazadde batandike okusomesebwa nga bukyali kukivirako obulwadde buno okukwata abaana abakazallibwa.