Ebyobulamu
Abaana bakugemebwa kokoolo
Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga ekakasizza nti omwaka ogujja, yakugema abaana bonna abawala kokoolo wa Nabaana.
Abawala abatunuuliddwa beebemyaka ekkumi .
Atwala ekiwayi ekikola ku ndwadde ezitasiigibwa mu minisitule eno, Gerald Mutungi agambye nti baafunye ensimbi okuva mu GAVI okuyambako okugema abaana abawala.
Ekigendererwa kyakukendeeza mikisa gy’abaana bano okufuna kokoolo wa nabaana n’ebitundu 99 ku kikumi
Mutungi agamba nti wabula mu kadde kano batandise okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebitali bimu nga bakebera abakyala kokoolo ono n’okubasomesa engeri gyebayinza okumwewalamu.
Yye omukugu okuva mu malwaliro ga Marie Stopes mu Uganda Dr Milton Owundo agambanti kokoolo ono aluma bangi ku bantu ekikumi abalina kokoolo ebitundu 40 ku kikumi abeera wa nabaana
Ono agamba nti yadde omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya gukendedde, abalwadde ba kokoolo wa Nabaana bakyaali bangi
Bino abyogedde ayogerera ku mukolo gw’okukebera abanti kokoolo wa nabaana mu kampala.
Abakyala abawerera ddala enkumi ssatu mu lukaaga beebafuna kokoolo wa nabaana buli mwaka nga kuno enkumi bbiri mu bitaano bafa