Ebyobulamu
Abaana balongoseddwa emitima
Abaana 20 beebalongoseddwa emitima mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Abaana bano balongooseddwa ku bwereere ekibinja kya basawo abawerede ddala 40 nga bano babadde bayiga kulongoosa kw’ekika kino.
Kawefube ono bannaRotary eya kampala mu bukiikakkono nga bali wamu n’ekibiina kya Gift of life beebamusakiridde
Minisita akola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza nga kawefube ono w’okutandika okulongoosa abantu bano wakuyamba okutaasa obukadde n’obukadde bw’abantu abatalina nsimbi zibatwaala bweru kulongoosebwa
Yye akulira eddwaliro ly’emitima e Mulago Dr John Omangino agamba nti eggwanga lisasanya obukadde 20 obwa doola mu kutambuza abalwadde b’emitima.
Buli mwaka abaana abali mu mutwalo beebazaliibwa n’obuzibu ku mitima
Ebitundu 60 ku bano basobola okulongoosebwa ne batereerea