Ebyobulamu

Abaana emitwalo 24 ssibageme

Ali Mivule

March 12th, 2014

No comments

Immunization

Abaana abasoba mu mitwalo 24 beebatali bageme.

Abaana bano kitegeeza nti bali mu bulabe bw’okufa endwadde omunaana zinnamutta

Minisitule ekola ku byobulamu egamba nti abaana boogerwaako bazze beetuma wakati w’omwaka 2006 ne 2012

Kati nno minisitule erabye biri biti n’essa emikono ku ndagaano n’ab’amalwaliro g’obwannanyini okulaba nti gayambako mu kukunga abantu okugemesa abaana baabwe

Akulra ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng agambe nti ab’amalwaliro gano bagenda kufuna firiigi 100 n’eddagala erikozesebwa mu kugema abaana ng’entegeragana eno yakumala emyaka 2.

Akulira ekibiina ekigatta abasawo abakola mu malwaliro g’obwa nnanyini Dr. Harold Bisase agamba nti asuubira nti bajja kusobola okutuukirira abantua bawera