Ebyobulamu
Abaana emitwalo 30 tebabagema misoozi
Bya Shamim Nateebwa
Abaana abali mu mitwalo 30 bebali mu kabi okukwatibwa ekirwadde kya Mulangira, oluvanyuma lwobutagemebwa mu myaka 3 ejiyise, mu district 56.
Okusinziira ku ministry yebyobulamu ebitunfu okuli Buganda, Busoga ne Bugishu, abagemeddwa babdde batono atenga mu Karamoja abazadde bajumbidde ku 73% ne Kigezi 72%.
Bwabadde awayaamu ne banamwulire mu Kampala, akulira entekateeka zokugema mu ministry Dr. Alfred Driwale agambye nti waddenga eddgala weriri, obuzibu bukyali mu banatu abatefeirayo okugemes baana baabwe.
Ono kati alangiridde ennaku 5 ez’okugema ekirwadde kya Measles, Rubella ne Polio nga muno balubiridde okugema abaana obukadde 18 nemitwalo 10 abali wansi wemeyaka 15 okuva nga 25 okutukira ddala nga 29 Sebutemba.