Ebyobulamu
Abadde asiiga banne siriimu akomeddwaako
Mu ggwanga lya America, omusajja abadde agufudde omuze okusiiga abalala obulwadde bwa Mukenenya alagiddwa obutakola kikolwa kino
Omusajja ono webamuloppedde mu kkooti nga yakasiiga abantu munaana mu bbanga lya myaka ena.
Omukulu ono amanyiddwa nga AO okusinziira ku biwandiiko bya kkooti era alagiddwa okugenda afuna obudabuudibwa ku ngeri y’okubeeramu n’ekirwadde kino nga tanyigidde abalala ekivaako okubutambuza
Abakulu mu kkooti bagambye nti kyebatayagala kwekulaga nti bagaala okumubonereza wabula okutaasa b’ayinza okusiiga obulwadde
Ssinga agaana okuwuliriza ekiragiro kya kkooti yandisibwa oba okulagirwa okuwa engassi.