Ebyobulamu
Abafiira mu sanya e Butalejja bayitirivu
Omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya mu disitulikiti ye Butalejja gweyongedde nga buli bakyala emitwaalo kkumi abazaala 530 bafa.
Bino byogeddwa atwala ebyobulamu mu disitulikiti Dr. John Bosco Matovu.
Dr Matovu agambye nti wano webasinzidde okuvaayo n’enkola empya egenda okuyita mu ba gombolola 12 agakola disitulikiti eno nga basomesa abakyala n’abasawo ku ngeri y’okukendezaamu ekizibu kino.
Enteekateeka eno ey’emyaka ena esakiriddwa ab’ekibiina kya Korean World Vision ku buwumbi 10
Dr Matovu agamba nti abakyala bangi bafa kubanga n’abasajja benyini tebabafaako nga nabo bakubayitamu.
Akulira ekibiina kya World Vision mu kitundu kino Evelyne Kusiima agambye nti byebazudde biraze nti abakyala bangi bafa kubanga bazaalira waka nga nebwebafuna ebizibu tewali ayinza kubayambako.
Kigambibwa okuba nti e Butalejja abakyala ebitundu 25 ku kikumi bokka beebazalira mu malwaliro.