Ebyobulamu
Abafiirwa omwana balemedde ku nsonga
Kooti ettadewo olunaku lwa nga 7 ogwokuna okuwulirirako omusango ogukwata ku mwana eyabikibwa nti afudde kyokka nga mulamu
Omwana ayogerwaako yali wa Anthony Mutyaba ne Justine Nassimbwa abawaaba eddwaliro lya case hospital nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa
Kigambibwa okuba Nassimbwa yalumwa olubuto nga wa myezi mukaaga era olwagenda mu ddwaliro abasawo nebamugamba nti omwana yali atuuse okuzaala era nebamussako ebisa bw’atyo n’azaala
Bamugamba nti omwana afudde kyokka baba bagenda okumuziika nebamukeberako ng’assa era bwebamuddusa mu ddwaliro ekisubi kyakakasibwa nti yali mulamu
Bamwongerayo mu dwaliro e Nsambya gyeyamala essaawa 18 n’oluvanyuma n’afa.
Abasawo babagamba nti omwaa yafa kiziyiro
Abazadde bano bagamba nti ssinga omwana waabwe tebamulagajjalira oba olyaawo teyandifudde