Ebyobulamu
Abafuna Ebola bakendedde
Omuwendo gwabantu abafuna ekirwadde kya Ebola mu bugwanjuba bwa Africa gukendedde
Ekibiina ky’ebyobulamu ekya MSF kigamba nti kino kivudde ku malwaliro agajjanjaba abantu agawerako n’abasawo nga kati obukodyo bwebulina okwongerwaamu
Bano bagamba nti kyetaagisaawo ekibinja ky’abakugu abakola ku baba bafunye obulwadde mu bwangu nga tebannatabuka
Eggwanga lya Liberia lyerisinze okukosebwa ekirwadde kya Ebola ekitawaanya n’ababeera mu Guinea ne Sierra Leone.
Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kigamba nti kisanyufu nti ebintu bikyuuseemu