Ebyobulamu
Abaggagga basitukiddemu ku Ebola
Banaggagga 10 batonzeewo ensawo enayamba abantu abakoseddwa ekirwadde kya Ebola
Bano basisikanye mu ggwanga lya Ethiopia era nebasondawo doola obukadde 28 ezigenda okuyamba okusindika abasawo mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia.
Abakugu bagamba nti obulwadde buno basobodde okubwetoloola nga kati kufuba kujjanjaba ababulina n’okutaayiiza abatannabufuna
Abantu abali mu 5000 beebakafa ekirwadde kino kw’abo omutwalo egumu mu enkumi ennya ababulina