Ebyobulamu
abakola sigala baluyiseeko
Gavumenti eyongezaayo enteekateeka zaayo ku tteeka eriragira abakozi ba sigala okumusabika mu bisabika ebifanagana okuva mu makolero gonna.
Gavt eyagala ebisabika bya sigala ebitasikiriza nyo bantu kumunywa n’okusingira ddala eri abavubuka.
Abakugu mu nddwadde ya kookolo mu ggwanga lino bazzenga bavumirira ekya gavumenti okwagala enyo omusolo okusinga okufa ku bulamu bw’abantu.
Gavumenti eyagala ebisabika byonna bibeera ne langi yeemu, nga kuliko n’obubaka obulabula abantu obutamweyunira olwobulabe bwalina.
Eggwanga lya Australia lyelyasooka okutongoza yokusabika sigala ono mu mwaka gwa 2012.