Ebyobulamu
Abakugu balabudde ku mmere
Abakugu mu by’endiisa balabudde nti okulya emmere y’empeke etaterekeddwa bulungi bwekiyinza okuvaako endwadde ya kkookolo.
Okulabula kuno kukoleddwa akulira ekitongole ky’ebyemmere mu nsi yonna mu bukiika kkono bw’eggwanga Mary Stella Mavenjina ategezezza nga empeke eziterekeddwa obubi zifuna ekirungo ky’obutwa nga kyabulabe nyo eri obulamu bw’omuntu.
Mavenjina ategezezza nga abalimi bangi bwebamala geterekera mpeke zino kale nga kiba kyangu okuyingiramu obuwuka.