Ebyobulamu

Abakungu bagobeddwa

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

PS Health Lukwago 1

Abakungu okuva mu ministule y’ebyobulamu bagobeddwa mu kakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo.

Abakulu ababadde bakulembeddwaamu omwuandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr Asuman Lukwago babadde bagenze kutangaaza babaka ku byafulumira mu alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2011.

Ensimbi eziwerako obuwumbi 3 zeezitamanyiddwaako mayitire nga tewali mbalirira eraga engeri gyezakozesebwaamu  yadde nga kyeyoleka nti zaweebwa bakungu abatali bamu okuddukanya emirimu.

Dr Lukwago agezezzaako okunyonyola nti bakyakola embalirira kyokka ababaka okubadde Maxwell Akora ne Paul Mwiru nebabalagira okusoola okuleeta olukalala okuli abaweebwa ensimbi ezoogerwaako.

Akakiiko kati kakubawa olunaku olulala kwebanaddira okutangaaza ku bitategerekeka.