Ebyobulamu
Abakweeka abalina Ebola bakusibwa emyaka 2
Palamenti mu ggwanga lya Sierra Leone liyisizza etteeka erigufuula omusango omuntu okukweeka omulwadde wa Ebola
Anakwatibwa wakusibwa emyaka 2 .
Kati etteeka lino lisigalidde kussibwaako mukono gwa mukulembeze wa ggwanga
Lyo eggwanga lya Ivory Coast liggadde ensalo zaalyo okwewala okufuna ekirwadde kino ekifuuse ensonga mu nsi wonna.
Kyo ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti amawanga agafubye okunyikiza olutalo ku bulwadde buno gafunyeemu ng’abantu abapya ababufuna bakendedde
Bbo ab’ebyobulamu mu ggwanga lya Congo bakakasizza nga ekirwadde kya Ebola byekirumbye eggwanga lyaabwe.
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lino Felix Numbi akakasizza nga abantu 2 bwebazuuliddwa nga balina Ebola ono mu ssaza lye Equateur oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okutandika okufa mu ngeri etategeerekeka.
Wabula ab’ebyobulamu bagamba ebola ono tafaanana n’oyo ali mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa naye nga wabulabe nnyo ddala.