Ebyobulamu
Abakyal bafunye ebbeetu okujjamu embuto
Mu ggwanga lya Ireland etteeka erigenda okuwa abakyala ebbeetu okujjamu embuto liyise
Etteeka lino ligamba nti ssinga obulamu bw’omukyala bubeera mu katyabaga, aba aasobola okujjamu olubuto.
Mu ngeri yeemu era ssinga wabaawo obujulizi nti omukyala oyo tayagala lubuto olwo ng’ayinza okwetta ssinga bamukaka okulukuza era akkirizibwa okuluggyamu
Omukulembeze w’eggwnaga lya Ireland, agamba nti etteeka lino amaze okulissako omukono ng’ekigendererwa kyaalyo kutaasa bakyala aabafa nga bagezaako okujjamu embuto