Ebyobulamu
Abakyala abafa- buli omu ayambeko
Minisitule y’ebyobulamu egamba nti okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya kisoboka ssinga buli omu akwatiza waali.
Omwogezi wa minisitule Rukia Nakamatte agamba nti nebwebanassa eddagala mu ddwaliro naye ng’abakyala bangi tebagenda mu malwaliro kuba kumala biseera.
Nakamatte agamba nti abakyala abasinga okufa nga bazaala baba bajjamu mbuto n’abatayagala kukozesa nkola za kizaala ggumba.
Ono agamba nti waliwo obwetaavu bw’okusomesa abantu ku biki ebivaako abakyala okufiira mu leeba.
Okusinziira ku kibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu, abakyala 33 beebafiira mu ssanya buli ssaawa.