Ebyobulamu
Abakyala bafiira ku mazzi
Abakyala ku bizinga bye Koome benyamidde olw’omuwendo gw’abakyala abafiira ku mazzi nga baddusibwa mu malwaliro okuzaala
Kansala w’abakyala ku bizinga bino Olivia Nabasirye agambye nti olw’embeera y’amalwaliro agatalimu bikola ku bizinga, bangi baddusibwa mu malwaliro g’oku lukalu ate nga gali wala ddala.
Ekizinga kino kiri Mukono kyokka nga’abakibeerako abasinga bwebaba abalwadde bagenda Entebbe oba Gaba.
Kansala asabye abakulembeze e Mukono okubaddukirira okutereeza embeera.
Abatuuze kati beekozeemu omulimu okuzimba ekifo ekitonotono ekinaakola ku bakyala b’embuto bokka.