Ebyobulamu
Abakyala batunda mama kit
Mu disitulikiti ye Lira , abakyala b’embuto bagenda okufuna ebikozesebwa mu kuzaala kyokka nebababitunda okufunamu ejjamba.
Abakyala aboogerwako beebali mu divizoni ya leerwe ng’ebikozesebwa bino babiggya ku Ayago health centre III nebabitunda mu malwaliro ge miriraano ku shs omutwalo gumu n’ekitundu.
Abakyala bano nno olumala nebaddukira mu ddwaliro ekkulu erye Lira nebaddamu okufuna ebirala ku bwereere
Ssentebe w’egombolola ye Ngetta George Ekwee akkirizza nga bwebafunye edda amawulire gano nga n’abakyala abamu bakkirizza okutunda bu maama kit buno.
Ono wabula alabudde nti anakwatibwaako kakumujjutuuka.
Asabye abakyala bulijjo okuloopa abo abatunda ebintu bya gavumenti.