Ebyobulamu

Abakyala beekalakaasizza e Mulago

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

Matembe 2

Abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala amakya ga leero bakedde kwekalakaasa mu mirembe olw’ebbula ly’amazzi ku ddwaliro ekkulu e Mulago.

Bano bakutte ebidomola by’amazzi ebikalu nga kati baagala gavumenti eyambe ku bbula lyamazzi lino eriyingidde wiiki ey’okusatu.

Omu ku bakulembeddemu okwekalakaasa kuno  Miria  Matembe agamba baagala kulaba nga Mulago addamu okufuna amazzi kubanga ddwaliro ly’abantu bonna kale nga terisaanye kubeera na kizibu ky’amazzi.

Amazzi g’emulago gasalibwako ab’ekitongole ky’amazzi kati wiiki 2 namba olw’ebbanja lya buwumbi 6.

Akulira ekitongole kino Dr. Silver Mugisha, yategeeza nga bwebabanja ebitongole bya gavumenti obuwumbi 30.